Maama Ye Maama

Original Translation
Ronnie: Maama osibye otya maama
Maama wasuze otya,maama,
Nzize kunsiima bilungi
Muggwe maama
Maama oli mukyala muzira
Maama olwana entalo mubuto ngabwendwala lubeera lutalo
Kazigyeyo akasente munsawo
Nkaletedde gwe maama ofune akamwenyu
Yegwe yayola,
Nalimuto ngasilowooza Nakukula
Nganakasente okukafuna lutalo
Naye maamaaaa
Maama wabangawo
Okundabilira mumbeera eyooo
Coming soon
Patricia & Anitah: Uuuuu maama Ye maama
Eeee maama Ye maama hmm maama Ye maama
Fred: Wakeeranga no’fumba kakyayi kukyoto
Kumakya no’nsibirira emmere mu dish
Mwanawange genda kussomero
Naye enjala tekuluma n’akamere akaako
Watunda nga ne ffene ofuna sukaali
Nga tumuttika netusindika akagaali
Nkusabira obelewo
Buwangaazi bwokka
Owangaale maama afazali
Wangamba
Nti ndiba bulungi
Gwe yangamba
Nkijjukila ngatuli munnyumba
Maama wansomesa eby’ensi eno nongumya
Ndikuwela ki maama
Isaac: Singa maama
Yenze agaba ebitiibwa
Wandibadde otambulira
Ku red carpet
Era maama kankolennyo
Nkuwe ebilungibuli lukya oba ku budget
Welekereza okubela n’ensiimbi
Ng’olwanila kubera bulungi
Webale nyabo webale bambi
Mweno ensi eyajjula amagimbi
Nze bwe nkulaba nemegerera
Maama wanzijamu amalala agekivubuka
Kati yeggwe maama gwenkolera
Maama byenkusuubiza bya sanyu

Pin It on Pinterest

Share This